Job 20

Zofali Addamu

1Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti,

2“Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamu
kubanga nteganyizibbwa nnyo.
3 aMpulidde nga nswadde olw’okunenya,
okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.

4“Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5 bnti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
6 cNewaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7 dalizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
8 eAbulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
9 fEriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
taliddayo kulaba kifo kye nate.
10 gAbaana be basaana bakolagane n’abaavu,
emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11 hAmaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.

12“Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13 itayagala kukuleka,
wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16 jAlinywa obutwa bw’ensweera;
amannyo g’essalambwa galimutta.
17 kAlisubwa obugga,
n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19 lkubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
yawamba amayumba g’ataazimba.

20 m“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21 nTewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
alibonaabonera ddala nnyo.
23 oNg’amaze okujjuza olubuto lwe,
Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24 pBw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25 qAkasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26 rEkizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
gwokye ebisigadde mu weema ye.
27 sEggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28 tEbintu by’ennyumba biritwalibwa,
biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29 uEyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”
Copyright information for LugEEEE